Pular para o conteúdo
Publicidade

Marcos 8

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso mu Besusayida

22 Awo bwe baatuuka mu Besusayida, ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe w’amaaso, ne bamwegayirira amukwateko. 23 Yesu n’akwata omuzibe w’amaaso ku mukono n’amufulumya ebweru w’akabuga ako. N’awanda amalusu ku maaso g’omusajja n’agakwatako, n’amubuuza nti, "Kaakano waliwo ky’olaba?"

24 Omusajja n’amagamaga, n’addamu nti, "Yee! Ndaba abantu kyokka balabika ng’emiti egitambula."

25 Yesu n’ayongera okukwata ku maaso g’omusajja, omusajja n’azibuka amaaso n’awonera ddala buli kintu n’akiraba bulungi. 26 Yesu n’amutuma mu maka g’ewaabwe ng’amugamba nti, "Toddayo mu kyalo."

Veja também