15 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, "Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga."
16 Naye Yesu n’abaddamu nti, "Tekyetaagisa kubasiibula, mmwe mubawe ekyokulya."
17 Ne bamuddamu nti, "Ffe tetulina kyakulya kiyinza kubamala, wabula tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri."
18 N’abagamba nti, "Kale mubindetere wano." 19 N’alagira ekibiina kituule wansi ku muddo, n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri, n’atunula waggulu ne yeebaza, emigaati n’agimenyaamenyamu n’agiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina. 20 Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri! 21 Abantu bonna abaalya baali ng’enkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana.