Okukkiriza kw’Omukanani
21 Yesu n’ava mu kifo ekyo, n’agenda mu kitundu omuli ebibuga Ttuulo ne Sidoni. 22 Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, n’ajja eri Yesu n’amwegayirira nti, "Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo."
23 Naye Yesu n’asirika n’atamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, "Bw’omugoba n’agenda. Ng’ayitirizza okutukaabirira."
24 Naye Yesu n’addamu omukazi nti, "Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula."
25 Naye omukazi n’asembera awali Yesu n’amusinza, n’amwegayirira ng’agamba nti, "Mukama wange, nnyamba."
26 Yesu n’amuddamu nti, "Si kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa."
27 Omukazi n’addamu nti, "Weewaawo, Mukama wange, naye n’embwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo."
28 Awo Yesu n’amugamba nti, "Mukazi watu, ng’okukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bw’oyagala." Amangwago muwala we n’awonera mu kiseera ekyo.