Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 20

Okusaba kwa Nnyina Yakobo ne Yokaana

20 Awo nnyina w’abaana ba Zebbedaayo, n’ajja eri Yesu ne batabani be bombi, n’amusinza ng’ayagala okubaako ky’amusaba.

21 Yesu n’amubuuza nti, "Kiki ky’oyagala?" N’addamu nti, "Nsaba, mu bwakabaka bwo, abaana bange bano bombi batuule naawe omu ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono."

22 Naye Yesu n’amuddamu nti, "Tomanyi ky’osaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?" Ne baddamu nti, "Tuyinza."

23 N’abagamba nti, "Weewaawo ekikompe mugenda kukinywako. Naye eky’okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ogwa kkono nze sikirinaako buyinza. Ebifo ebyo byategekebwa dda Kitange."

Veja também