Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 8

23 Yesu n’ayingira mu lyato n’abayigirizwa be. 24 Awo omuyaga mungi ogw’amaanyi ne gujja ku nnyanja, amayengo amagulumivu ne gaba kumpi okubuutikira eryato. Naye yali yeebase. 25 Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamuzuukusa nga bagamba nti, "Mukama waffe, tulokole, tusaanawo!"

26 Yesu n’abaddamu nti, "Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?" N’agolokoka n’aboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja n’eteeka. 27 Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, "Muntu ki ono, omuyaga n’ennyanja gwe bigondera?"

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também