Beleza
A verdadeira beleza vem de dentro. A Bíblia ensina que o encanto é enganoso e a formosura é vã, mas a mulher que teme ao Senhor — essa sim merece louvor.
Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,
naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.
Okweyonja kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu: nga mu misono gy’enviiri n’egy’amajjolobera ag’ebyo ebyambalwa mu bulago ne ku matu, n’egy’ebyambalo. Naye kube kwa mu mutima munda; okweyonja okutayonooneka okw’omwoyo omuwombeefu era omuteefu, era okwo kwe kw’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda.
Naye Mukama n’agamba Samwiri nti, "Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima."
Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo, wadde okwambala engoye ez’omuwendo ennyo. Wabula babe n’ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.
Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
Ng’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange,
toliiko bbala na limu.
Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,
mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;
n’abatonda omusajja n’omukazi.
Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.
"Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase
era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna."
Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo.
"Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, n’omubiri gusinga ebyambalo.