Pular para o conteúdo
Publicidade

Mateus 24

3 Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza mu kyama nti, "Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo n’enkomerero y’ensi nti eri kumpi?"

4 Yesu n’abaddamu nti, "Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba. 5 Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, Nze Kristo, era balirimba bangi. 6 Munaatera okuwulira entalo n’eŋŋambo z’entalo. Temwekanganga, kubanga ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka.

Veja também