Publicidade

Isaías 12

Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe

1 Ku lunaku olwo oligamba nti,

"Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda;

newaakubadde nga wansunguwalira,

obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.

2 Laba Katonda bwe bulokozi bwange;

nzija kumwesiga era siritya;

kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,

era afuuse obulokozi bwange."

3 Munaasenanga n’essanyu amazzi

okuva mu nzizi ez’obulokozi.

4 Era ku lunaku olwo mulyogera nti,

"Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,

mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,

mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.

5 Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;

muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.

6 Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,

kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu."

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-