Publicidade

Isaías 51

Okukubirizibwa Okwesiga Katonda

1 "Mumpulirize,

mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama:

Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako,

n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.

2 Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe

ne Saala eyabazaala.

Kubanga we namuyitira yali bw’omu

ne mmuwa omukisa ne mmwaza.

3 Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni;

akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika

era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni,

n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama;

Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo,

okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.

4 "Mumpulirize, mmwe abantu bange;

era muntegere okutu mmwe ensi yange.

Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi,

obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.

5 Obutuukirivu bwange

busembera mangu nnyo,

obulokozi bwange buli mu kkubo.

Era omukono gwange gujja kuleeta obwenkanya eri amawanga.

Ebizinga birinnindirira era birindirire n’essuubi omukono gwange okubirokola.

6 Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu,

mutunuulire ensi wansi!

Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka

n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo.

Abagituulamu balifa ng’ensowera.

Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna,

so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.

7 "Mumpulirize,

mmwe abamanyi obutuukirivu,

eggwanga eririna amateeka gange

mu mitima gyammwe.

Temutya kuvumibwa bantu

wadde okukeŋŋentererwa olw’okuyomba kwabwe.

8 Kubanga ennyenje ziribalya nga bwe zirya ebyambalo.

N’obuwuka bubalye ng’obulya ebyoya by’endiga.

Naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna.

Obulokozi bwange bunywere emirembe gyonna."

9 Zuukuka,

zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda.

Kozesa amaanyi go otuyambe.

Gakozese nga edda.

Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi?

Si ye ggwe eyafumita ogusota?

10 Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja,

amazzi ag’obuziba obuwanvu ennyo

ne gafuuka ekkubo

abantu be wanunula bayitewo?

11 N’abo Mukama be wawonya

balikomawo

ne bajja mu Sayuuni nga bayimba.

Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe.

Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.

Mukama Alinunula Abantu be

12 "Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi.

Mmwe baani abatya omuntu alifa,

n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,

13 ne weerabira Mukama Omutonzi wo

eyabamba eggulu,

n’ateekawo n’emisingi gy’ensi,

ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya

obusungu bw’abo abakunyigiriza,

oyo eyemalidde mu kuzikiriza?

Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza?

14 Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa,

tebalifiira mu bunnya,

era tebalibulwa mmere gye balya.

15 Kubanga nze Mukama Katonda wo,

asiikuula amayengo g’ennyanja ne gawuluguma:

Mukama ow’Eggye lye linnya lye.

16 Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko,

era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange.

Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi;

era nze wuuyo agamba Sayuuni nti,

‘Muli bantu bange!’ "

Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama

17 Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi

eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe,

eyanywa n’omaliramu ddala

ekibya ekitagaza.

18 Ku baana aboobulenzi bonna be yazaala

tewali n’omu wa kumukulembera.

Ku baana bonna aboobulenzi be yakuza

tewali n’omu wa kumukwata ku mukono.

19 Ebintu bino ebibiri bikuguddeko

ani anaakunakuwalirako?

Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala,

ani anaakubeesabeesa?

20 Batabani bo bazirise,

bagudde ku buli nsonda y’oluguudo

ng’engabi egudde mu kitimba.

Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama,

n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.

21 Noolwekyo wulira kino ggwe, atamidde naye si lwa mwenge.

22 Bw’atyo bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,

Katonda wo alwanirira abantu be.

"Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa

olw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza.

Temuliddayo

kukinywa nate.

23 Ndikiteeka mu mikono gy’abo abaababonyaabonya abaabagamba nti,

‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’

Emigongo gyammwe gibe ng’ettaka,

ng’oluguudo olw’okulinnyirira."

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-