Publicidade

Isaías 56

Abantu ba Katonda Baliva mu Mawanga Gonna

1 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

"Mukolenga obwenkanya era ebituufu,

kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja,

n’obutuukirivu bwange

bunatera okubikkulibwa.

2 Alina omukisa omuntu akola ekyo,

n’omwana w’omuntu akinyweererako.

Akwata ssabbiiti obutagyonoona,

n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu."

3 Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti,

"Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,"

so n’omulaawe okugamba nti,

"Ndi muti mukalu."

4 Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

"Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange

ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa,

ne bakuuma endagaano yange,

5 amannya gaabwe galijjukirwa

mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo

n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

Ndibawa erinnya eritaliggwaawo

ery’emirembe n’emirembe.

6 N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,

okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama

era n’okubeera abaweereza be,

abakwata ssabbiiti

ne batagyonoona

era ne banyweza endagaano yange,

7 bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu

era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu.

Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe

birikkirizibwa ku kyoto kyange.

Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu

eri amawanga gonna."

8 Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,

akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti,

"Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala

ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza."

Katonda Alumiriza Abakulembeze ba Isirayiri Ebibi byabwe

9 Mukama agamba amawanga amalala okujja

ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.

10 Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso,

bonna tebalina magezi,

bonna mbwa

ezitasobola kuboggola,

zibeera mu kuloota nakugalaamirira

ezaagala okwebaka obwebasi.

11 Embwa ezirina omululu omuyitirivu

ezitakkuta.

Basumba abatayinza kutegeera,

bonna abakyamye mu makubo gaabwe;

buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.

12 Bagambagana nti,

"Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire.

N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero,

oba n’okusingawo."

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-