Publicidade

Isaías 50

Ekibi Kyawukanya Isirayiri ku Katonda

1 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

"Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa?

Oba nabatunda eri ani?

Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi;

olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.

2 Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu?

Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula?

Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula?

Mbuliddwa amaanyi agakununula?

Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira,

emigga ne ngifuula eddungu,

ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta,

ne bivunda olw’okubulwa amazzi.

3 Nyambaza eggulu,

n’ekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka."

4 Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi

oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye.

Anzukusa buli nkya,

buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.

5 Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwange

ne siba mujeemu.

Sizzeeyo mabega.

6 N’awaayo omugongo gwange eri abankuba,

n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu.

Saakweka maaso gange eri abo abansekerera

n’eri abo abanfujjira amalusu.

7 Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba

kyennaava siswazibwa.

Noolwekyo kyenvudde n’egumya

era mmanyi nti siriswazibwa.

8 Kubanga oyo ampolereza ali kumpi.

Ani alinnumiriza omusango?

Twolekagane obwenyi.

Ani annumiriza?

Ajje annumbe.

9 Mukama Ayinzabyonna y’anyamba.

Ani alinsalira omusango?

Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo;

ennyenje ziribalya.

10 Ani ku mmwe atya Mukama,

agondera ekigambo ky’omuweereza we?

Oyo atambulira mu kizikiza,

atalina kitangaala

yeesige erinnya lya Mukama

era yeesigame ku Katonda we.

11 Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro,

ne mwekoleereza ettaala z’omuliro,

mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe,

ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza.

Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange;

muligalamira mu nnaku.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_18-40-07-