Ekitiibwa Kya Sayuuni eky’Oluvannyuma
1 "Yimba ggwe omugumba
atazaalanga;
tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala
ggwe atalumwanga kuzaala.
Kubanga ggwe eyalekebwa
ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,"
bw’ayogera Mukama.
2 "Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo,
tokwata mpola;
nyweza enkondo zo.
Yerusaalemi eky’Ebiro Ebijja
11 Mukama agamba nti,
"Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe;
laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi,
emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.
12 Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu,
n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo,
ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo.
13 N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;
n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.