Publicidade

Isaías 58

3 Beebuuza nti, "Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako?

Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?"

Musooke mulabe,

ennaku ze musiiba

muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe,

musigala munyigiriza abakozi bammwe.

4 Njagala mulabe.

Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo,

n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde.

Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.

5 Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana?

Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako?

Kukutamya bukutamya mutwe,

kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu?

Okwo kwe muyita okusiiba,

olunaku olusiimibwa Mukama?

6 Kuno kwe kusiiba kwe nalonda;

okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu,

n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo,

n’okuta abo abanyigirizibwa,

n’okumenya buli kikoligo?

Veja também

Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-