6 Kuno kwe kusiiba kwe nalonda;
okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu,
n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo,
n’okuta abo abanyigirizibwa,
n’okumenya buli kikoligo?
7 Si kugabira bayala ku mmere yo,
n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo;
bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza
n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
8 Awo omusana gwo gulyoke guveeyo
gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu;
obutuukirivu bwo bukukulembere,
era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.
9 Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu;
olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano.
"Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza
n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;