Publicidade

Isaías 61

1 Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,

kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,

antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.

Okulangirira eddembe eri abawambe,

n’abasibe bateebwe

bave mu makomera.

2 Okulangirira omwaka gwa Mukama

ogw’okulabiramu obulungi bwe;

olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga

era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.

3 Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga,

okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu,

n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku.

Ekyambalo ky’okutendereza

mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa

balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama,

balyoke baweebwe ekitiibwa.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-22_10-02-25-