10 Nsanyukira nnyo mu Mukama,
emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange.
Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi
era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu,
ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona,
ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.