Pular para o conteúdo
Publicidade

Isaaya 7:1-4,6,9,12,14,16

Akabonero Akategeeza Okujja kwa Emmanweri

1 Awo olwatuuka mu mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w’e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulwanyisa Yerusaalemi naye ne balemererwa.7:1 Mu mwaka 735 bc, Isirayiri ne Busuuli batta omukago balwanyise Bwasuli, ne bagezaako okusendasenda Akazi kabaka wa Yuda abeegatteko

2 Amawulire bwe gatuuka eri Kabaka wa Yuda nti, "Obusuuli bwegasse ne Efulayimu okubalumba"; omutima gwe n’egy’abantu ba Yuda bonna ne gikankana, ne giba ng’emiti egy’omu kibira eginyeenyezebwa embuyaga.

3 Mukama Katonda n’alyoka agamba Isaaya nti, "Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne mutabani wo Seyalusayubu, olusalosalo olw’ekidiba ekyengulu we lukoma, mu luguudo olw’Ennimiro y’Omwozi w’Engoye, 4 omugambe nti, ‘Weegendereze, beera mukkakkamu toba na kutya omutima gwo teguggwaamu maanyi olw’emimuli gino eginyooka egiggweeredde, olw’obusungu bwa Lezini, n’obwa Obusuuli n’obw’omwana wa Lemaliya obubuubuuka.’ 6 ‘Ka twambuke tulumbe Yuda, tukiyuzeeyuze tukyegabanye, tufuule omwana wa Tabeeri okuba kabaka waakyo.’

9 Ne Samaliya ge maanyi ga Efulayimu,

era mutabani wa Lemaliya ge maanyi ga Samaliya.

Bwe mutalinywerera mu kukkiriza kwammwe,

ddala temuliyimirira n’akatono.’ "

12 Naye Akazi n’agamba nti, "Sijja kusaba kabonero, sijja kugezesa Mukama Katonda."

14 Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri. 16 Kubanga ng’omwana bw’aba nga tannamanya kugaana kibi n’alondawo ekirungi, ensi eza bakabaka ababiri bootya erisigala matongo.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.