Pular para o conteúdo
Publicidade

Isaaya 1:11-17

11 "Ssaddaaka enkumu ze munsalira

zingasa ki?

Nkooye endiga ennume

enjokye eziweebwayo,

so sisanyukira musaayi gwa nte,

newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume," bw’ayogera Mukama.

12 Bwe mujja mu maaso gange,

ani aba abayise

ne mujja okulinnyirira empya zange?

13 Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu;

obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi.

Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe

zijjudde obutali butuukirivu.

14 Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu,

emmeeme yange ebikyaye,

binfuukidde omugugu,

nkooye okubigumiikiriza.

15 Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe

nnaabakwekanga amaaso gange,

era ne bwe munaasabanga ennyo

siiwulirenga

kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.

16 Munaabe, mwetukuze

muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi,

mulekeraawo okukola ebibi.

17 Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,

mudduukirirenga abajoogebwa,

musalenga omusango gw’atalina kitaawe,

muwolerezenga bannamwandu.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.