3 Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike.
Tetwayagala na kumutunulako,
ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo,
bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.
4 Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe,
obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.
Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe
kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
5 Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe.
Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe.
Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe.
Ebiwundu bye, bye bituwonya.