Publicidade

Jeremias 10

Katonda ne Bakatonda Abalala

1 Muwulire ekigambo Katonda ky’abagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri. 2 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

"Temugobereranga makubo g’amawanga

oba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu,

kubanga amawanga ge byeraliikirira.

3 Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa;

batema omuti mu kibira,

omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.

4 Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,

bagukomerera n’enninga n’ennyondo

guleme okunyeenyanyeenya.

5 Bakatonda bafaanana nga ssemufu

mu nnimiro y’ebibala,

era tebasobola kwogera

kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.

Tobatya,

tebayinza kukukola kabi konna,

wadde okukola akalungi n’akamu."

6 Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda.

Oli mukulu,

era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.

7 Ani ataakutye,

Ayi Kabaka w’amawanga?

Kubanga kino kye kikugwanira.

Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga

ne mu bwakabaka bwabwe bwonna

tewali ali nga ggwe.

8 Bonna tebalina magezi basirusiru,

abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.

9 Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi,

ne zaabu eva e Yufazi,

ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze

byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu.

Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.

10 Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,

era Kabaka ow’emirembe gyonna.

Bw’asunguwala, ensi ekankana,

amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.

Katonda Omulamu ne Bakatonda Abataliimu

11 "Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ "

12 Mukama yakola ensi n’amaanyi ge,

n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge,

era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.

13 Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma,

asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi.

Amyansisa eggulu mu nkuba,

era n’aggya empewo mu mawanika ge.

14 Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera;

buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze.

Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba,

era tebiriimu bulamu.

15 Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa

ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.

16 Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo,

ye Mutonzi w’ebintu byonna,

era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe,

Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Okuzikirira Okujja

17 Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi,

mmwe abazingiziddwa.

18 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

"Laba nfuumuula abantu

mbaggye mu nsi eno,

era ndibaleetako ennaku

balyoke bawambibwe."

19 Zinsanze nze olw’ekiwundu kyange

ekinnuma ennyo.

Naye ate ne ŋŋamba nti,

"Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira."

20 Eweema yange eyonooneddwa,

era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali.

Tewali n’omu asigaddewo kaakano

kuzimba weema yange

wadde okuzimba ekigango kyange.

21 Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo

tebakyebuuza ku Mukama.

Noolwekyo tebakulaakulana

era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.

22 Wuliriza!

Amawulire gatuuse,

waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono,

kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe.

Okusaba kwa Yeremiya

23 Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe,

omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.

24 Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde,

si mu busungu bwo,

si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.

25 Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,

agatakutwala ng’ekikulu,

ku bantu abatakoowoola linnya lyo.

Kubanga bamazeewo Yakobo,

bamuliiridde ddala

era ne boonoona ensi ye.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_18-40-07-