Publicidade

Jeremias 47

Obubaka Obukwata ku Bafirisuuti

1 Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:

2 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

"Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono,

galifuuka omugga ogwanjaala.

Galyanjaala ku nsi

ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu.

Abantu balikaaba;

bonna abali mu nsi baliwowoggana.

3 Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka

n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe

era n’okuwuuma kwa nnamuziga,

bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,

emikono gyabwe gya kulebera.

4 Kubanga olunaku lutuuse

okuzikiriza Abafirisuuti bonna,

n’okusalako bonna abandisigaddewo

abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.

Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti

abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.

5 Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga.

Asukulooni alisirisibwa.

Ggwe eyasigala mu kiwonvu,

olituusa ddi okwesalaasala?

6 " ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba,

obudde bunaatuuka ddi owummule?

Ddayo mu kiraato kyo

sirika teweenyeenya.’

7 Naye kiyinza kitya okuwummula

nga Mukama y’akiragidde,

ng’akiragidde

okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?"

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_18-40-07-