Publicidade

Jeremias 15

Yuda Wakuzikirira

1 Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, "Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire. 2 Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’

"Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,

Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,

n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,

n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’

3 "Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza," bw’ayogera Mukama. "Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza. 4 Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi olw’ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.

5 "Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi?

Oba ani alikukungubagira?

Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?

6 Mwanneegaana," bw’ayogera Mukama.

"Temutya kudda nnyuma.

Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange

ne mbazikiriza.

Sikyasobola

kukukwatirwa kisa.

7 Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyo

mu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi.

Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo

kubanga tebaaleka makubo gaabwe.

8 Bannamwandu beeyongedde obungi

okusinga n’omusenyu gw’ennyanja.

Mu ttuntu mbaleetedde omuzikiriza

amalewo ababazaalira abalenzi abato.

Mbakubiddewo

obubalagaze n’entiisa.

9 Eyazaala omusanvu ayongobedde,

awejjawejja.

Enjuba ye egudde nga bukyali misana,

amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde.

N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala,

mu maaso ga balabe baabwe,"

bwayogera Mukama.

10 Zinsanze, mmange lwaki wanzaala

omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya?

Siwolanga wadde okweyazika,

kyokka buli muntu ankolimira.

11 Mukama agamba nti,

"Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi,

ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira,

mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.

12 "Omusajja ayinza okumenya ekikomo

oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?

13 "Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo

binyagibwe awatali kusasulwa,

olw’ebibi byo byonna

ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.

14 Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe

mu ggwanga lye mutamanyi,

kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro

ogunaabookya gubamalewo."

Yeremiya Yeekaabirako

15 Ayi Mukama ggwe omanyi byonna.

Nzijukira ondabirire.

Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya.

Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala.

Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.

16 Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya,

byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange.

Kubanga mpitibwa linnya lyo,

Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.

17 Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu

era sibeerangako mu biduula nabo.

Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo,

era wandeetera okwekyawa.

18 Lwaki okulumwa kwange tekukoma

era n’ekiwundu kyange ne kitawona?

Onomberera ng’akagga akalimbalimba

ng’ensulo ekalira?

19 Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti,

"Bwe muneenenya,

ndibakomyawo musobole okumpeereza;

bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde,

mulibeera boogezi bange.

Leka abantu bano be baba bajja gy’oli,

so si ggwe okugenda gye bali.

20 Ndikufuula ekisenge eri abantu bano,

ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo.

Balikulwanyisa

naye tebalikuwangula,

kubanga ndi naawe,

okukununula, n’okukulokola,"

bw’ayogera Mukama.

21 "Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi

era n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe," bw’ayogera Mukama.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-18_06-35-37-