Publicidade

Jeremias 30

Isirayiri Azzibwawo

1 Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nti, 2 "Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe. 3 Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama."

4 Bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti, 5 "Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

" ‘Emiranga egy’okutya giwulirwa,

bulabe teri mirembe.

6 Mubuuze mulabe.

Omusajja alumwa okuzaala?

Kale lwaki ndaba buli musajja ow’amaanyi

ng’atadde emikono gye ku lubuto ng’omukazi alumwa okuzaala,

buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ng’agenda okufa?

7 Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!

Tewali lulirufaanana.

Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo,

naye aliwona n’akiyitamu.

8 " ‘Olulituuka ku lunaku olwo,

ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabwe

era ne mbasaleko amasamba,

ab’amawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

9 Wabula, bajja kuweerezanga Mukama Katonda waabwe

ne Dawudi kabaka waabwe

gwe ndibayimusiza.

10 " ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange,

toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’

bw’ayogera Mukama.

‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala,

nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse.

Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu,

era tewali n’omu alimutiisatiisa.

11 Ndi wamu nammwe

era ndibalokola,

wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde,

siribazikiririza ddala mmwe,’

bw’ayogera Mukama.

Ndibakangavvula n’obwenkanya,

siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.

12 "Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

" ‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka,

Ebisago byo si byakuwona.

13 Tewali n’omu wa kukuwolereza,

tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.

14 Abakuyamba bonna bakwerabidde

tebakufaako.

Nkukubye ng’omulabe bwe yandikoze

ne nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze,

kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyo

n’ebibi byo bingi ddala.

15 Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo,

obulumi bwo obutaliiko ddagala?

Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo

nkuleeseeko ebintu bino.

16 " ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa,

abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse.

Abo abaakunyaga balinyagibwa,

abo abaakwelula balyelulwa.

17 Naye ndikuzzaawo owone,

ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama,

‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa,

Sayuuni atalina n’omu amufaako.’

18 "Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

" ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo

era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.

Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,

n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.

19 Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza

era n’eddoboozi ery’okujaguza,

ndibaaza, era tebaliba batono,

ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.

20 Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda,

era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba.

Ndibonereza bonna ababanyigiriza.

21 Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo;

omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo.

Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange,

kubanga ani oyo alyewaayo

okunyiikira okubeera okumpi nange?’

bw’ayogera Mukama.

22 ‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,

nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ "

23 Laba, omuyaga gwa Mukama

gulikuntira mu kiruyi,

empewo ey’amaanyi

eyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.

24 Obusungu bwa Mukama obubuubuuka

tebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizza

ekigendererwa ky’omutima gwe.

Mu nnaku ezirijja,

kino mulikitegeera.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-