Publicidade

Jeremias 48

Obubaka Obukwata ku Mowaabu

1 Ebikwata ku Mowaabu:

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

"Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa,

Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe,

ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe.

2 Mowaabu taddeyo kutenderezebwa;

mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti,

‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’

Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa,

n’ekitala kirikugoberera.

3 Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu,

okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene.

4 Mowaabu alimenyebwa;

abawere ne bakaaba.

5 Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi,

nga bwe bakungubaga

ku luguudo olugenda e Kolonayimu,

emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.

6 Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe;

mubeere ng’ebisaka mu ddungu.

7 Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe,

nammwe mulitwalibwa ng’abaddu,

ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse

awamu ne bakabona be n’abakungu be.

8 Omuzikiriza alirumba buli kibuga,

era tewali kibuga kiriwona.

Ekiwonvu kiryonoonebwa

n’olusenyu luzikirizibwe

kubanga Mukama ayogedde.

9 Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende

kubanga alifuuka matongo,

ebibuga bye birizikirizibwa,

nga tewali abibeeramu.

10 "Akolimirwe oyo agayaalira omulimu gwa Mukama Katonda.

Akolimirwe oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.

11 "Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe,

nga wayini gwe batasengezze,

gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala,

tagenzeko mu buwaŋŋanguse.

Kale awooma ng’edda,

n’akawoowo ke tekakyukanga.

12 Naye ennaku zijja,"

bw’ayogera Mukama Katonda,

"lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya,

era balimuyiwa ebweru;

balittulula ensuwa ze

baase n’ebibya bye.

13 Awo Mowaabu alikwatibwa ensonyi olwa Kemosi,

ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yaswala

bwe yeesiga Beseri.

14 "Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi,

abasajja abazira mu ntalo?’

15 Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa;

abavubuka be abato bagende battibwe,"

bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.

16 "Okugwa kwa Mowaabu kusembedde;

akabi katuuse.

17 Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde,

mwenna abamanyi ettutumu lye;

mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese,

ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’ 

18 "Mukke muve mu kitiibwa kyammwe

mutuule ku ttaka,

mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni,

kubanga oyo azikiriza Mowaabu

alibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe.

19 Muyimirire ku luguudo mulabe,

mmwe ababeera mu Aloweri.

Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka,

mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’

20 Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese.

Mukaabe muleekaane!

Mulangiririre mu Alunoni

nti Mowaabu kizikiridde.

21 Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyi

ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi,

22 ne ku Diboni, ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu,

23 ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne ku Besumyoni;

24 ne ku Keriyoosi ne ku Bozula

ne ku bibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n’ebiri okumpi.

25 Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako,

n’omukono gwe gumenyese,"

bw’ayogera Mukama Katonda.

26 "Mumutamiize;

kubanga ajeemedde Mukama.

Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye,

era asekererwe.

27 Isirayiri tewagisekereranga?

Baali bamukutte mu bubbi,

olyoke onyeenye omutwe gwo ng’omusekerera

buli lw’omwogerako?

28 Muve mu bibuga byammwe mubeere mu njazi,

mmwe ababeera mu Mowaabu.

Mubeere ng’ejjiba erikola ekisu kyalyo

ku mumwa gw’empuku.

29 "Tuwulidde amalala ga Mowaabu

amalala ge agayitiridde n’okwemanya,

okwewulira kwe era n’okweyisa kwe

era n’okwegulumiza kwe okw’omutima.

30 Mmanyi obusungu bwe obutaliimu," bw’ayogera Mukama Katonda,

"okwenyumiriza kwe okutaliiko kye kugasa.

31 Noolwekyo nkaabirira Mowaabu,

olwa Mowaabu yenna nkaaba,

nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.

32 Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba,

ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna.

Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja;

gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri.

Omuzikiriza agudde ku bibala byo

ebyengedde era n’emizabbibu.

33 Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimiro

ne ku bibanja bya Mowaabu.

Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero;

tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu.

Newaakubadde nga waliyo okuleekaana,

okuleekaana okwo si kwa ssanyu.

34 "Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye

okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi.

Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya,

kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.

35 Ndiggyawo

abo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu,

ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe," bw’ayogera Mukama Katonda.

36 "Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere;

gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi.

Obugagga bwe baafuna buweddewo.

37 Buli mutwe mumwe

na buli kirevu kisaliddwako;

buli mukono gutemeddwako

na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.

38 Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabu

ne mu bifo awakuŋŋaanirwa,

tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga,

kubanga njasizzayasizza Mowaabu

ng’ekibya ekitaliiko akyagala," bw’ayogera Mukama Katonda.

39 "Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba!

Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu!

Mowaabu afuuse kyakusekererwa,

ekyekango eri bonna abamwetoolodde."

40 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:

"Laba! Empungu ekka,

ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu.

41 Ebibuga birikwatibwa

n’ebigo biwambibwe.

Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabu

giribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala.

42 Mowaabu alizikirizibwa,

kubanga yajeemera Mukama.

43 Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,

mmwe abantu ba Mowaabu,"

bw’ayogera Mukama Katonda.

44 "Buli alidduka entiisa

aligwa mu bunnya,

n’oyo aliba avudde mu bunnya

alikwatibwa omutego;

kubanga ndireeta ku Mowaabu

omwaka gw’okubonaabona kwe,"

bw’ayogera Mukama Katonda.

45 "Mu kisiikirize kya Kesuboni,

abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi,

kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni,

ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni,

era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu,

n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana.

46 Zikusanze ggwe, Mowaabu.

Abantu b’e Kemosi bazikiridde,

batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋanguse

ne bawala bammwe mu busibe.

47 "Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabu

mu nnaku ezijja,"

bw’ayogera Mukama Katonda.

Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_18-40-07-