Kananiya Nnabbi ow’Obulimba
1 Mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka gwe gumu, gwe mwaka ogwokuna, obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga bw’akatandika, nnabbi Kananiya omwana wa Azuri eyali abeera e Gibyoni n’aŋŋambira mu nnyumba ya Mukama nga bakabona n’abantu bonna we bali nti, 2 "Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nzija kumenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni. 3 Emyaka ebiri nga teginnaggwaako, ndikomyawo ebintu by’omu nnyumba ya Mukama mu kifo kino, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bye yaggya wano n’abitwala e Babulooni.
15 Awo nnabbi Yeremiya n’agamba nnabbi Kananiya nti, "Wuliriza, Kananiya! Mukama tannakutuma naye ggwe owalirizza eggwanga lino okwesiga obulimba. 16 Noolwekyo kino Mukama kyagamba nti, ‘Ndikumpi okukuggya ku nsi. Omwaka guno gwennyini ogenda kufa, kubanga oyigirizza abantu okujeemera Mukama.’ "
17 Mu mwezi ogw’omusanvu ogw’omwaka gwe gumu, Kananiya n’afa.