11 Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso," bw’ayogera Mukama. 12 "Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira," bw’ayogera Mukama. 13 "Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna. 14 Mulinzuula era ndibakomyawo okubaggya mu buwaŋŋanguse. Ndibakuŋŋaanya mu mawanga gonna n’ebifo byonna, gye nabagobera, era ndibakomyawo mu kifo mwe nabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse," bw’ayogera Mukama.
Publicidade
Publicidade