Pular para o conteúdo
Publicidade

Yeremiya 29:4,5,7,10-13

4 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ng’agamba abo bonna be natwala mu buwaŋŋanguse okuva mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni nti, 5 "Mwezimbire amayumba mutuule omwo; mulime ennimiro mulye ebibala byamu. 7 Era munoonye emirembe n’okukulaakulana kw’ekibuga gye mbatutte mu buwaŋŋanguse. Musabenga Mukama, ekibuga mukisabire kubanga bwe kikulaakulana nammwe mujja kukulaakulana."

10 Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama nti, "Emyaka nsanvu nga giweddeko e Babulooni, ndijja gye muli ntuukirize ekisuubizo kyange eky’ekisa mbakomyewo mu kifo kino. 11 Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso," bw’ayogera Mukama. 12 "Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira," bw’ayogera Mukama. 13 "Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.