Publicidade

Jeremias 31

31 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, "Ekiseera kijja,

lwe ndikola endagaano empya

n’ennyumba ya Isirayiri

era n’ennyumba ya Yuda.

32 Teribeera ng’endagaano eri

gye nakola ne bajjajjaabwe

bwe nabakwata ku mukono

okubakulembera okubaggya mu nsi y’e Misiri,

kubanga baamenya endagaano yange nabo

wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,"

bw’ayogera Mukama.

33 "Eno y’endagaano gye nnaakola

n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo," bw’ayogera Mukama.

"Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe,

ne ngawandiika ku mitima gyabwe.

Ndibeera Katonda waabwe,

nabo balibeera bantu bange.

34 Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,

oba omusajja muganda we ng’agamba nti, Manya Mukama,

Kubanga bonna balimmanya,

okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,"

bw’ayogera Mukama.

"Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe,

n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira."

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-