6 Yeremiya n’agamba nti, "Ekigambo kya Mukama kyanzijira: 7 Laba Kanameri mutabani wa Sallumu kojjaawo agenda kujja gy’oli akugambe nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi kubanga ng’owooluganda asinga okuba okumpi guba mukisa gwo era buvunaanyizibwa bwo okugigula.’
8 "Awo nga Mukama bwe yali agambye, omwana wa kojja wange Kanameri yajja mu luggya lw’omukuumi gye nnali n’aŋŋamba nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi mu kitundu kya Benyamini, kubanga okirinako obuyinza n’obuvunaanyizibwa okukinunulayo n’okyefunira, kyegulire.’
"Olwo ne mmanya nti kino kye kigambo kya Mukama. 9 Ne ndyoka ngula ennimiro ey’e Anasosi ku Kanameri omwana wa kojjange, ne mubalira ensimbi, ebitundu kkumi na musanvu ebya ffeeza.
24 "Laba entuumo z’omulabe z’atuumye okuzinda ekibuga okukiwamba n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli, ekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya abakirumba. Ekyo kye wagamba kituukiridde nga kaakano bw’olaba. 25 Era wadde ng’ekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya, ggwe Ayi Mukama Katonda oŋŋambye nti, ‘Toola ffeeza weegulire ennimiro era wabeerewo n’abajulirwa.’ "
26 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, 27 "Nze Mukama, Katonda w’abantu bonna. Eriyo ekinnema?