7 Naye Ebedumeleki Omuwesiyopya omu ku balaawe b’omu lubiri lwa kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu kinnya, nga ne kabaka atudde ku mulyango gwa Benyamini, 8 Ebedumeleki n’ava mu lubiri n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, 9 "Mukama wange kabaka, abantu bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze nnabbi Yeremiya okumusuula mu kinnya, gy’anafiira enjala nga tekyali mugaati gwonna mu kibuga."
10 Awo kabaka n’alagira Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, "Twala abasajja amakumi asatu okuva wano musitule nnabbi Yeremiya okuva mu kinnya nga tannafa."
11 Awo Ebedumeleki n’atwala abasajja ne bagenda mu kisenge wansi w’etterekero ly’ensimbi mu lubiri. Nakwata ebigoye ebimu ebikadde n’engoye enziinaziina n’abissa awamu n’emiguwa eri Yeremiya mu kinnya. 12 Ebedumeleki Omuwesiyopya n’agamba Yeremiya nti, "Teeka ebigoye bino ebikadde wansi w’enkwawa zo okunyweza emiguwa wansi w’emikono gyo." Yeremiya n’akola bw’atyo. 13 Ne bamusikayo n’emiguwa ne bamuggya mu kinnya. Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi.