Publicidade

Jeremias 20

14 Lukolimirwe

olunaku kwe nazaalirwa!

Olunaku mmange kwe yanzaalira

luleme kuweebwa mukisa!

15 Akolimirwe eyaleetera kitange amawulire,

agaamusanyusa ennyo,

ng’agamba nti, "Omwana omulenzi akuzaaliddwa."

16 Omusajja oyo abeere ng’ebibuga Mukama bye yamenyaamenya

awatali kusaasira kwonna.

Okukaaba kuwulirwe ku makya,

ne nduulu z’abalwanyi mu ttuntu.

17 Yandinzitidde mu lubuto lwa mmange.

Mmange yandibadde entaana yange,

olubuto lwe ne luba lunene emirembe gyonna.

18 Lwaki nava mu lubuto

okulaba emitawaana n’obuyinike

era ennaku zange ne nzimala mu buswavu?

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-22_10-02-25-