14 "Mukomeewo mmwe abaana abanvaako," bw’ayogera Mukama; "kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni. 15 Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera. 16 Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi," bw’ayogera Mukama, "abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala.
Publicidade
Publicidade