Oluyimba nga balinnya amadaala.
1 Balina omukisa abatya Katonda;
era abatambulira mu makubo ge.
2 Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;
oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
3 Mu nnyumba yo,
mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni
nga beetoolodde emmeeza yo.
4 Bw’atyo bw’aweebwa emikisa
omuntu atya Mukama.