Pular para o conteúdo
Publicidade

Zabbuli 139

13 Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;

ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.

14 Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;

emirimu gyo gya kyewuunyo;

era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.

15 Wammanya nga ntondebwa,

bwe nakolerwa mu kyama;

bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.

16 Wandaba nga si natondebwa.

Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera

zawandiikibwa mu kitabo kyo.

17 By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!

Omuwendo gwabyo munene!

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também