1 Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!
Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
2 Bangi abanjogerako nti,
"Katonda tagenda kumununula."
3 Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;
ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
4 Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,
n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.
5 Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,
kubanga Mukama ye ampanirira.
6 Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange
abanneetoolodde, okunnumba.