Pular para o conteúdo
Publicidade

Zabbuli 4:2,4,6-8

2 Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange?

Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?

4 Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire,

mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.

6 Waliwo bangi abasaba nti, "Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama,

otumulisize omusana gw’amaaso go."

7 Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange

erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.

8 Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;

kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,

ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.