1 Onsaasire, Ayi Mukama,
ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2 Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3 Ebyonoono byange mbikkiriza,
era ebibi byange mbimanyi bulijjo.