Pular para o conteúdo
Publicidade

Zabbuli 51

4 Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,

ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;

noolwekyo by’oyogera bituufu,

era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.

5 Ddala, nazaalibwa mu kibi;

kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.

6 Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.

Ompe amagezi munda ddala mu nze.

7 Onnaaze n’ezobu51:7 Ezobu kimera ekisangibwa mu Asiya, era kikozesebwa okutuukiriza obulombolombo obw’enjawulo okutukuzibwa, mu Baebbulaniya ntukule

onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.

8 Onzirize essanyu n’okwesiima,

amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.

9 Totunuulira bibi byange,

era osangule ebyonoono byange byonna.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também