Pular para o conteúdo
Publicidade

Zabbuli 141

Zabbuli Ya Dawudi.

1 Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!

Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.

2 Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,

n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.

3 Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,

era bwe njogera onkomeko.

4 Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,

n’okwemalira mu bikolwa ebibi;

nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,

wadde okulya ku mmere yaabwe.

5 Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;

muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;

sijja kugagaana.

Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.

6 Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,

olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.

7 Balyogera nti, "Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,

n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe."

8 Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda;

mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!

9 Nkuuma omponye omutego gwe banteze,

n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.

10 Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.

Veja também