Pular para o conteúdo
Publicidade

Salmos 21

7 Kubanga kabaka yeesiga Mukama,

era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,

kabaka tagenda kunyeenyezebwa.

8 Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;

omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.

9 Bw’olirabika, Ayi Mukama,

olibasiriiza n’omuliro ng’ogwomu kyoto ekyengeredde.

Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,

era alibamalirawo ddala.

Veja também