1 Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;
muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
2 Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,
mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
3 Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,
eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.
4 Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
5 Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
naye Mukama ye yakola eggulu.
6 Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.
7 Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;
mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
8 Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;
muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
9 Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.
Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.